Kyaddaki Zari Hassan abikudde ekyama nti ye akyali mbooko era asobola bulungi nnyo okuddamu okuzaala.
Mu kiseera kino Zari alina omusajja amanyikiddwa nga King Bae era kigambibwa y’omu ku basajja abalina ku ssente mu ggwanga erya South Africa.
Zari alina emyaka 38 egimanyiddwa, alina abaana bataano (5), abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo era bambi y’omu ku bakyala abategeera okulya obulamu.
Bwe yabadde ku Ttiivi emu, yagambye nti ye akyali mbooko era asobola bulungi nnyo okuzaala wadde baana 10 kuba ye mukyala muzadde.

Ebigambo bye, biraga nti King Bae alina omukisa okuzaala mu Zari abaana bataano (5) abalala kuba omugenzi Ivan Ssemwanga yamuzaalira abaana basatu (3) ate omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania abaana babiri (2).
Mu Uganda, Zari abadde nnyo mu mawulire oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya ne Anitah Fabiola ku siteegi ku mukolo gw’okunoonya Nnalulungi wa Uganda omwezi oguwedde ogwa July.