Taata w’omuyimbi Fresh Kid, Paul Mutabazi amanyikiddwa nga Fresh Daddy asuddewo tawulo mu kisaawe ky’okuyimba.

Fresh Kid mu Saluuni ya Kitaawe
Fresh Kid mu Saluuni ya Kitaawe

Fresh Daddy agamba nti asobodde okufuna akasente okuva mu bantu ab’enjawulo omuli omubaka Muhammed Nsereko akiikirira Kampala Central, Sofia Namutebi Maama Fiina n’okuva mu kisaawe ky’okuyimba, kwekutandikawo Saluuni.

Mu kiseera kino, atandisewo saluuni mu bitundu bye Bukoto ey’abakyala, etuumiddwa ‘Fresh Mazike Salon’ okusibba abakyala enviri, okulongosa enjala n’okusala enviiri.