Munnakatemba Princess Becky Jjuuko owa The Ebonies yetondedde abakyala bonna mu ggwanga olw’okubaswaza sabiti ewedde oluvanyuma lw’omuntu gw’asinga okwesiga okufulumya ebifaananyi bye ne vidiyo ng’ali bukunya.

Princess Jjukko agamba nti teyakikola nti ayagala okuswaza abakyala n’abawala mu ggwanga wabula eyali muganzi we emyaka 3 emabega, yabifulumya olw’ensonga ezitamanyiddwa.

Princess Jjukko enkya ya leero, akedde kweyanjula ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, okwewozaako ku bifaananyi bye.

Mu kwogerako eri bannamawulire, Princess Jjukko agaanye okwatuukiriza erinnya ly’omusajja wabula ensonga azikwasizza ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza.