Poliisi y’e Kiruhura ewezeza omuwendo gw’abantu 11 abakakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta omwana Ronald Kangume myaka 8.
Kangume yawambibwa nga 31, July, 2019 bwe yali agenda ku ssomero lya Christ the King Primary School ku kyalo Ruhondwa mu ggombolola y’e Nyakashashara era omulambo gwe gwazuuliddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.
Okusinzira ku Poliisi, Kangume bwe yali awambiddwa, abawambi baasaba abazadde emitwalo 10 egya ddoola (3.6Biriyoni mu ssente) nga singa zibalema, omwana yali wakuttibwa.
Abazadde olw’okulemwa okusindiika ssente, omwana waabwe yattibwa naziikibwa mu kiswa ekyafuluka.
Poliisi egamba nti omwana yawambibwa eyali omukozi w’awaka ng’amusuubiza okumutwalako ku ssomero ku ggaali kyokka yamutwala mu kibira mu ffaamu y’awaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira agamba nti oluvanyuma lw’okuwamba omwana, abawambi basaba jjajja w’omwana George Kamugisha okusindiika ssente mu bwangu kyokka mu ssaawa 2 zokka omwana yatugibwa n’attibwa nga bakozesa olugoye.
Okunoonyereza, Poliisi yasoose kukwata omukozi w’awaka mu Monisipaali y’e Mbarara ate abalala baabakwattidde mu Disitulikiti y’e Kiruhura.
Mu bakwate 11, kuliko omukozi wa Bbanka mu Kampala era omu ku bakwattiddwa poliisi agambye nti batumibwa omukozi wa Bbanka, okumutwalira akawanga k’omwana omuto nga Muhima era ng’abasuubiza obukadde bwa ssente era y’emu ku nsonga lwaki Kangume yawambibwa n’okuttibwa nga n’okusaba ssente emitwalo 10 eza ddoola, bakikola kulemesa bazadde okusobola okutuukiriza eky’okutta omwana, okufuna akawanga.