Kyaddaki omuyimbi Fille Mutoni afulumizza oluyimba lwa laavu “Bw’olidda” omujjudde ebigambo by’omukwano.
Mu luyimba, Fille alajjana agamba nti alina omusajja gwasubwa mu bulamu bwe, omutima gwe gukaaba era amwesunga olunnaku lwalidde mu bulamu bwe.


Mungeri y’emu agamba nti singa omusajja we akomawo, naye alifuna ku ssanyu kuba obulamu bumusubwa nnyo.
Ebigambo bye, biraga nti asuubwa omukwano gwa MC Kats eyali bba oluvannyuma ne bawukana olw’obutakaanya wakati waabwe.

 

https://www.youtube.com/watch?v=eYVGLJPZe40