Diamond Platnumz alaze muganzi we Tanasha Donna kye bayita ssente n’omukwano kuba asobodde okumusindikira abantu awaka okumukuba ebifaananyi ebiri mu bukadde bwa ssente.

Tanasha mu ngeri y’okusiima, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga okusiima kwe eri bba Platnumz era agambye nti yebaza Omutonzi okumuwa ekirabo kya Platnumz asobodde okukyusa obulamu bwe, “Thank you Lord for this blessing. @diamondplatnumz ❤️🙏 A huge thanks to the well recommended squad that came home yesterday and made this happen“.
Kigambibwa, Platnumz akola byonna omuli n’okusasaanya ssente, okulumya eyali mukyala Zari Hassan