Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Olive Kazarwe asindise Rashid Fadiga okusibwa emyaka 12 mu kkomera e Luzira lwa kubba ‘School Fees’ za muyizi ku yunivasite y’e Kyambogo n’empale z’omunda bbiri (2).
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 16, Ogwokusatu, 2017 mu bitundu bye Nakasero mu Kampala, Fadiga yabba ensawo ya Kevin Aweko omwali ssente za School Fess emitwali 450,000, empale z’omunda bbiri (2) nga zibalibwamu omutwalo gumu (10,000), bulawuzi 6 nga zibalibwamu 18,000, empale empavu 4 nga zibalibwamu 20,000, engatto nga zibalibwamu 20,000.
Aweko agamba nti owa bodaboda Fadiga yalina ekyambe ng’amusuubiza okumutusaako obulabe singa tawayo nsawo.
Obujjulizi bulaga nti, Aweko yali ava Paidah ng’ayolekera ku yunivasite y’e Kyambogo kyokka bwe yatuuka mu Arua Park mu Kampala, kwe kulinya bodaboda okumutwala e Banda ku yunivasite.
Omulamuzi Kazarwe bw’abadde awa ensala ye agambye nti obujjulizi obuleteddwa oludda oluwaabi, tewali kubusabuusa kwonna Fadiga yabba ensawo ya Aweko, kwekumusiba emyaka 12 okuba eky’okulabirako n’okutangira aba bodaboda abalina okutambuza abantu okwenyigira mu kubba abasabaze.