Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’okusiga ensimbi Evelyn Anite alaajana olwa baayise ba ‘Mafia’ abaagala okumutta.
Minisita agamba waliwo abamulondoola abalumika amasimu ge n’okumutisatiisa ave mu kulondoola emivuyo egyetobese mu kkampuni ya gavumenti ey’ebyempuliziganya eya Uganda Telecom Ltd. (UTL).
Agamba nti abakulu mu Gavumenti abaagala okumutta batuula mu bifo eby’enjawulo omuli kirabu za Kampala, Uganda Registration Services Bureau (URSB) n’ebifo ebirala.
Anite agamba nti singa attibwa, tewali kubusabuusa kwonna, Poliisi erina kutandikira ku ba ‘Mafia okunoonyereza.
Mungeri y’emu agambye nti wadde waliwo abantu abelemeddeko okumulemesa emirimu gye, tewali muntu yenna agenda kumulemesa kunoonyereza ku UTL.
Kinnajjukirwa nti Minisita Anite yayimiriza Bemanya Twebaze ku bwa ssenkulu bwa UTL, okusobozesa okunoonyereza ku mivuyo gya ssente mu kampuni.