Omuyimbi Anita Da Diva eyayimba ‘Zero distance’ alojja omusajja amukuba buli lunnaku.
Anita agamba nti akooye bba Meddie Katongole okumukuba emiggo era tasobola kumuddira ne bw’asaddaaka enjiibwa.

Anita Da Diva
Anita Da Diva

Bw’abadde ayogerako naffe agambye nti wadde balina omwana, akooye obufumbo bw’emiggo.
Mungeri y’emu asabye bba Katongole okumuddiza ezimu ku ssente zeyateeka mu kuzimba ennyumba n’okugula emmotoka.

Wabula omusajja Katongole agamba nti Anita alina ebigambo bingi nnyo, era mu kiseera kino alina akabadi kaaliko.
Mungeri y’emu Katongole abikudde ekyama nti Anita akola obubadi obw’enjawulo bw’aba alina oluyimba olupya lw’ayagala okufulumya.