Omuyimbi wa Kandogo Kamu Mathias Walukagga naye avuddeyo ku nsonga za Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo okwawukana oluvanyuma lw’emyaka 5 nga balina n’omwana omu.

Walukagga agamba nti Rema ne Kenzo, “balina eddembe okwekyawa oba okweyagala kuba bonna bantu bakulu era bonna tewali alina musango”.

Mungeri y’emu agambye nti okusinga okwetta olw’obutakaanya mu bufumbo, Rema okugenda kisinga byonna.

Walukagga agamba nti Rema okufumbirwa Kenzo tewali muntu yenna yamukaka era alina eddembe okufuna omusajja omulala amuwa essannyu ku mutima.

Ate Walukagga okwagala Rema wakati wa 2013 – 2016, Walukagga agambye nti, “abantu balina eddembe okwogera kuba nze tanjagalangako wabula mukwano gwange nnyo mu kisaawe ky’okuyimba kuba mukyala ayimba bulungi nnyo”.