Omulamuzi Anna Mugenyi owa kkooti enkulu mu Kampala etawulula enkayana z’ebyobusuubuzi awadde omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ennaku 14 zokka okwewozaako ku musango gw’okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde 135.
Kinnajjukirwa nti omugagga Ephraim Kirumira Majjanja nnannyini kkampuni ekola weema eya Majjanja & Sons e Kireka okuva omwaka oguwedde, abadde alumiriza Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation okugaana okumusasula obukadde 135 ezaasigalayo bwe baamuguza weema.
Majjanja ng’ayita mu bannamateeka be aba Majjanja & sons company Ltd yadduukira mu kkooti olwa Bryan White okugaana okusasula ebbanja ate yamutiisatiisa okumukuba amasasi bwe yali agenzeeyo okubanja.
Omulamuzi Mugenyi awadde Bryan White ennaku 14 okuteekayo okwewozaako kwe oluvannyuma kkooti etandiike okubatabaganya ku nsonga zaabwe.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu October wa 2018, Nicholas Muwanguzi owa Wald electronicis, yatuukirira Majjanja ku lwa Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation namusomera ddiru nti abakolere weema eziwera ku 270,000,000.
Nga 13, October, 2018, Bryan White ne mukwano gwe Muwanguzi yasasulako obukadde 135 naasigala ng’abanjibwa obukadde 135.
Nga 24, October, 2018, Majjanja yamaliriza omulimu era yabawa weema zino nga Muwanguzi ye yazinona.
Oluvanyuma, Bryan White yasuubiza Majjanja okufuna ssente ze bbanja mu wiiki emu kyokka nakati akyabanja.