Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ayogedde amazima lwaki mukyala we Rema Namakula yafunye omusajja omulala Dr Hamza Ssebunya.

Mu kiseera kino Kenzo ali mu ggwanga erya America era okusinzira ku kigatto waffe mu ggwanga eryo, Kenzo akyasobeddwa eka ne mu kibira olwa Rema okugenda.

Kenzo agamba nti obutawa Rema budde ku nsonga z’omu kisenge ng’ali mu kunoonya ssente mu mawanga ag’enjawulo y’emu ku nsonga lwaki yamusuddewo.

Mungeri y’emu agambye nti Rema abadde yamusaba dda okumutwala amwanjule mu bazadde kyokka okulwawo okutuukiriza okukuba Rema embaga, ekyo nakyo kyamunyiiza.

Kenzo era agambye nti Rema wadde mukyala mulungi nnyo, abadde amukweka ebyama kuba yali yatandika dda okuzimba amayumba nga tamugambyeko, ekiraga nti yali yategeka dda okufuna omusajja omulala.