Poliisi ekutte maama n’omwana ku by’okutta ssemaka, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Kaguhangire Maria myaka 52 n’omwana Tumwebaze cosilanta myaka 25 bebakwatiddwa ku by’okutta Turyahebwa Samson myaka 54 abadde omutuuze ku kyalo Nyabubare mu ggombolola y’e Bwambara mu disitulikiti y’e Rukungiri olw’obutakaanya ku mmere gye balina okulya.
Kigambibwa, ssemaka Turyahebwa kati omugenzi, yatabukidde mukyala we olw’okufumba emmere gya tayagala ku lya.
Okulwanagana kwatandikiddewo, omukyala kwekuddukira mu kisenge kya mutabani waabwe Tumwebaze ku ssaawa nga 4 ez’ekiro.
Wabula ssemaka wakati mu kuwanyisiganya ebisongovu, yalumbye omukyala mu kisenge kya mutabani waabwe era omukyala yakutte omuggo, naamukuba ku mutwe.
Ssemaka Turyahebwa yavudde mu nnyumba ng’atonnya musaayi nga n’okuwunga awunze era yafudde, bamutwala mu ddwaaliro mu katawuni k’e Nyabubare.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omukyala n’omwana bakwattiddwa, bayambeko Poliisi mu kunoonyereza.
Maate era avumiridde eky’abasajja okutwalira amateeka mu ngalo.