Mu nsi y’omukwano, abantu bayita mu kusomozebwa okwenjawulo omuli essanyu n’amaziga.

Wosomera bino, ng’omuwala ategerekeseeko erya Betty ali mu maziga oluvanyuma lwa bba Dr. Hamza Ssebunya okumusuulawo kuba yafunye omukyala omulala omuyimbi Rema Namakula.

Kigambibwa Betty yalabagana ne Ssebunya mu 2017 era mu kiseera ekyo, Betty yali akyasoma ku yunivasite y’e Makerere era ng’akola ku dduuka lya Ssebunya.

Mu Janwali 2017, Betty yatikkirwa era amangu ddala Dr. Ssebunya n’amuwoowa mu Gwokuna mu 2017, kwekutandika okubeera bombi e Bukoto.

Ng’omusajja omulala yenna, Dr. Ssebunya mu kiseera ng’ali ne Betty, yatandika okwegomba Rema era kwekutandika okumusindikira mesegi z’omukwano wadde Rema kyamutwalira ebbanga okutandiika okwanukula Dr. Ssebunya.

Ebigambo bya Rema, byakyusa endowooza ya Dr. Ssebunya n’ava awaka gye yali abeera ne Betty n’atandika okubeera e Namugongo gye yazimba amaka.

Betty agamba nti Dr. Ssebunya olwamusuula mu nju, kwekudda mu bazadde be e Kireka era naye yalabidde awo nga bba (Dr. Ssebunya) ali mu nteekateeka za kukuba Rema mbaga.