Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Gulu Isaac Kintu aliko omusajja gw’asindise ku limanda mu kkomera e Gulu okutuusa nga 11, October, 2019 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto emyaka 6.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 26, August, 2019 Johnson Twinomugisa myaka 30, nga mutuuze ku kyalo Kabedopong A mu ggombolola y’e Gulu, yasendasenda omwana, namutwala mu kayumba ke ak’essubi akasiisira, namusobyako.
Mu kkooti, Twinomugisa takiriziddwa kwogera kigambo kyonna kuba ali ku musango gwa naggomola nga kkooti enkulu yokka yerina obuyinza okuwuliriza omusango gwe.
Ekisinze okwewunyisa abazadde n’abantu mu kkooti, Twinomugisa alina akawuka akaleeta mukenenya nga waliwo okutya nti omwana ayinza okuba nga yamusiiga.
Alipoota y’abasawo eraga nti omwana yasobezebwako era omulamuzi kwekusindika Twinomugisa ku limanda okutuusa nga 11, October, 2019, kisobozese oludda oluwaabi okunoonyereza obulungi ku nsonga eyo.
Ate abazadde b’omwana abagambye nti balinze kkooti okufuna mazina n’obwenkanya olw’omwana waabwe okusobezebwako.