Poliisi y’e Kitgum ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta owa bodaboda Canon Oweka abadde omutuuze ku kyalo Akara mu ggombolola y’e Mucwini.
Abakwattiddwa kuliko Ivan Okeny ne Vincent Ochola nga bonna batuuze ku kyalo Putuke mu ggombolola y’e Matidi mu Disitulikiti y’e Kitgum.
Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Victor Nahabwe abakwate, olwamala okutta Oweka, ne batwala pikipiki ye ekika kya Bajaj namba UEN 799F eyazuuliddwa era Poliisi yasobodde okweyambisa Pikipiki okuzuula abatemu.
Mungeri y’emu agambye nti Ochola ne munne Okeny, kigambibwa baludde nga benyigira mu kubba n’okutta aba bodaboda era bakwattiddwa ku misango gy’obubbi n’obutemu okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.