Omuyimbi Rema Namakula kati mukyala Dr. Hamza Ssebunya alaze nti abadde alindiridde musajja gw’ayinza okutwala mu bazadde be kuba abadde akiraga mu mbeera ze.
Rema agenda kwanjula Hamza nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku luguudo lw’e Masaka.
Wabula okusinzira ku ssentebe w’olukiiko olutegesi lw’okwanjula Hajji Issa Musoke, mu Uganda Rema y’omu ku bakyala abambazi era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okugenda mu mawanga omuli Turkey ne Buyindi okunoonya engoye enungi, ezinaawa omukolo ekitiibwa.
Hajji Musoke agamba nti entekateeka zitambula bulungi ddala, Rema okwanjulira abazadde musajja we.
Abalala abafunye omukisa okutekateeka okwanjula kwa Rema kuliko Kojja Yusuf, Baaba Hanifa n’abalala era enkiiko zigenda mu maaso.

Bba wa Rema Dr. Ssebunya mutabani w’omugenzi Ahmed Kibirige eyali Ssentebe wa Bannayuganda abasuubulira mu kibuga Dubai. Maama wa Ssebunya abeera Kirinya- Bweyogerere.
Dr. Ssebunya asula Namugongo gy’alina amaka, musajja musuubuzi era alina bizinensi y’okutunda ebikozesebwa abasawo ku luguudo lwa Johnson Street.
Mu May 2019, yawoowa Rema nga beetegekera okutandika ekisiibo era emikolo gy’ali mu maka ga maama e Kirinya- Bweyogerere.

Rema bwe yabadde mu lukiiko sabiti ewedde ku wooteeri ya Kenron e Mmenge okumpi n’Olubiri, yagambye nti “tewali kubusabuusa kwonna enkiiko okugenda mu maaso, kabonero akalaga nti omukolo gulina okugenda mu maaso era mpulira essanyu ku bigenda mu maaso“.
Mu kiseera kino, Rema y’omu ku bakyala abayimbi abakyasinze okuyimba ku mikolo gy’abantu abalala omuli okwanjula n’embaga.

Rema alina ennyimba z’omukwano ez’enjawulo omuli Tikula, Akaliro, Oli Wange, Yo Sweet, Muchuzi, Kaliba, Siri Muyembe n’endala.