Eyaliko Omubaka wa Makindye East era omukugu mu by’okwerinda John Ssimbwa awabudde abavunaanyizibwa ku bifo ebyekusifu oba Safe Houses nti tebirina kumanyika mu bantu kubanga omugaso gwabyo guba guweddewo.
Ssimbwa era agamba nti kiri mu nkola za Gavumenti zonna mu nsi okubeera ne Safe Houses kyokka tekitegeeza kutulugunyizaamu abo ababeera batwaliddwayo ku nsonga ezenjawulo.
Agamba nti Safe Houses Gavumenti ezeyambisa ku nsonga ezitali zimu era bannansi tebalina kumanya gye zisangibwa okusobola okutuukiriza omulamwa lwaki ziteekebwawo.
Mu Uganda, bangi ku bannansi balumiriza ebitongole ebikuuma ddembe okubatulugunya nga basinzira mu Safe Houses okubagyamu amawulire n’okubakaka okukiriza emisango gye batazza.
Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki ababaka ba Palamenti abatuula kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu balemeddeko okunoonyereza ku ‘Safe Houses’ okusobola okuggyawo eky’okutulugunya bannansi ab’enjawulo.
Wabula Minisita w’Obutebenkevu mu ggwanga Gen. Elly Tumwine agamba nti mu Uganda mulimu ‘Safe Houses’ era waliwo abantu abaliyo ku nsonga y’okunyweza ebyokwerinda byabwe.
Minisita Tumwine agamba nti tewali mubaka wa Palamenti yenna alina buyinza kulambula ‘Safe Houses’ kuba kikwata ku nsonga za byakwerinda kwa ggwanga.