Kyaddaki ebitongole by’okwerinda mu ggwanga biriko abasajja basatu (3) bebakutte nga kigambibwa nti benyigira mukutemula omuwala Maria Naggirinya myaka 28 ne ddereeva we Ssaalongo Ronald Kitayimbwa.
Nagirinya yawambiddwa ku Lwokusatu ekiro nga 28, August, 2019 ku geeti ewuwe e Lungujja ng’ali ne ddereeva eyali amuvuga Kitayimbwa.
Emirambo gyabwe gyazuuliddwa ku Lwokutaano nga wayise ennaku bbiri (2) e Nama-Mukono mu kasenyi k’e Nakitutuli nga 30, August, 2019.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga, abakwate bagyiddwa ku bbaala ya Bristols e Nateete mu kiro ekikesezza olwaleero era nga bano bakabinja ka B13.
Enanga era agambye nti waliwo ne munaabwe anoonyezebwa ku by’okuwamba n’okutta Naggirinya ne Kitayimbwa.
Nagirinya yazaalibwa nga 28, February, 1990. Nnyina Allen Lunkuse yaa wa myaka ena (4).
Mu 2017, yayanjula bba Edagr Gateni, mu maka ga bakadde be Antony Francis Lubowa e Kibuye, oluvannyuma ne bakola embaga mu October, 2018.
Ebyazuuliddwa biraga nti Nagirinya bwe yasimbula ku mulimu ku Community Integrated Development Initiative (CIDI) yatuukako ewa mukwano gwe e Nalumunye mu Jomayi.
E Nalumunye, eyo Kitayimbwa gye yamusanga amuvuge okumuzza awaka mu mmotoka Toyota Spacio UBA 570V kyokka oluvanyuma ne bawambibwa ne battibwa.