Poliisi ekutte abaana b’omusuubuzi David Wakabi, omutuuze we Zzana mu Divizoni y’e Makindye Sabagabo mu Disitulikiti y’e Wakiso ku by’okuttibwa kwa Agnes Mirembe myaka 42 abadde omukozi w’awaka.

Mirembe yafudde ku Mmande ku makya nga 9, September, 2019 bwe yalumiddwa embwa, bwe yabadde akedde okulongoosa awaka.

Yafulumye mu nnyumba ku ssaawa nga 11:00 nga bukya nga tamanyi nti zino embwa zaabadde nkambwe.
Olwalinnye ekigere wabweru n’ayambalagana n’embwa ne zimugajambula yakanze kulaajana nga tewali amudduukirira.
Embwa zaamulumye ne zimutuga olwafudde ne zitandika okumuluma ebifi era zaamulumye ennyama y’oku ntumbwe ne zigiggyako.

Mu kiseera ekyo, ssemaka Wakabi n’omukyala baabadde ku mulimu ate abaana nga bali mu nju bakyebase.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, abaana abakwattiddwa kuliko ow’e 17 ne 19 nga baguddwako emisango gy’obulagajjavu.

Abatuuze bagamba nti Wakabi alina embwa 3 ezikuuma awaka era baawulidde miranga kyokka webatuukidde okutaasa, nga Mirembe z’embuyaga ezikunta.

Abaana bakwattiddwa ekibinja ky’abasirikale nga bakulembeddwamu adduumira Poliisi y’e Katwe Frantile Lwamusai.

Ate kitaabwe Wakabi akyaliira ku nsiko wabula Poliisi egamba nti naye aguddwako omusango gw’obulagajjavu.

Mirembe baabadde bamuggye Buikwe akole emirimu gy’omu maka ewa Wakabi.