Susan Makula Nantaba, muganzi wa Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries abikudde ekyama nga bwe yakoowa abantu ab’enjawulo ku nsonga za laavu.
Kigambibwa Makula ye mukyala omuggya, Pasita Bugingo gw’agenda okuwasa era y’emu ku nsonga lwaki Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo ensonga zabwe ziri mu kkooti okusatulula obufumbo bwabwe.
Wabula Makula bwe yabadde ku Salt TV mu Pulogulamu ‘Junction’ ne banne , yagambye nti, “ha ha ha, banaange mutuleke bwe muba temulina babaagala, nkooye abantu abatayagalwa, nkooye abantu abatayagalangako, nkooye abantu abakyayibwa, tukooye bannamwandu“.
Ebigambo bya Makula biraga nti simwetegefu kugabana musajja ne Teddy wadde eby’obugagga kuba ye yakoowa ebintu bingi nnyo.
Bino we bijjidde nga Paasita Bugingo yasaba dda kkooti emugattulule ne mukyala we Teddy Naluswa gwamaze naye emyaka egisoba mu 20 mu bufumbo obutukuvu. Bugingo yawasa Teddy nga December 20, 2003 ku kkanisa ya Victory Christian Center mu Ndeeba era balina abaana bana (Doreen Gift Bujjingo 28, Winnie Treasure Bujjingo 23, Jennifer Blessed Bujjingo 20 ne Issac Miracle Bujjingo 5).
Bugingo ne Teddy baali babeera bombi mu maka gaabwe agasangibwa mu KKB Zooni e Kitende naye Bugingo agamba nti amaka yagaddukamu emyaka munaana emabega ng’atya Teddy okumutuusaako obulabe.
Alumiriza nti Teddy mukwambwe ekisusse era ayomba n’akunkumula ennyenje. Agamba nti omukwano gwe yalina eri Teddy gwaggwaawo dda era ne bwe kiba kki tebakyasobola kuddingana kubanga Teddy amutulugunyizza nnyo omuli okumuvumira mu maaso g’abaana baabwe ne bannamawulire.
Eddoboozi lya Makula