Kyaddaki Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries avuddeyo ku bigambibwa nti yalemeddwa okuwa abaana be School Fees.

Sabiti eno, mukyala wa Bugingo, Teddy Naluswa Bugingo yawanjagidde minista w’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi ne sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okuyingira mu nsonga za, bba asasulire abaana fiizi.

Teddy agamba nti bba Bugingo yakubye abaana bwe baali bagenze okumusaba fiizi nga n’okutuusa kati batudde waka.

Bugingo kigambibwa nti, yalagira abakuumi be ne bakasuka abaana bano ebweru wakati mu bukambwe era bavaayo bakaaba.

Teddy agamba nti mu kiseera kino alina abaana abasoma basatu (3) nga beetaaga ssente za fiizi n’endala ezibayamba mu kusoma kyokka Bugingo yeeremye okubawa wadde 100.

Teddy ne Bugingo
Teddy ne Bugingo

Mungeri y’emu agambye nti “byonna Bugingo yandibikoze wabula n’asigala ng’alabirira abaana be kubanga ye kitaabwe tewali mulala ate abaana bazaalibwa maama ne taata nga balina okuyambibwa mu mbeera yonna“, bigambo bya Teddy.

Teddy era agambye nti Bugingo okugaana okugenda mu kkooti omulamuzi bwe yamuyita bateese ku ngeri gye bayinza okusasula fiizi z’abaana awatali kusika muguwa, y’emu ku nsonga lwaki ensonga yazongerayo mu kkooti kuba abaana be balina okusoma.

Wabula Pasita Bugingo agambye nti alina abaana bana (4) mu Teddy era okuva nga bakyali bato, asobodde okubalabirira mu mbeera yonna.

Agamba nti kiswaza mukyala we Teddy okusasaanya obulimba nti alemeddwa okusasulira abaana be ssente za fiizi.

Bugingo agamba nti tewali ssomero lyonna wadde yunivasite libanja baana be ssente za fiizi kyokka tanaba kusasula fiizi za ttaamu esambayo wadde ku yunivasite kuba abaana bonna balemeddwa okumutwalira ‘Bank Slip’.

Eddoboozi lya Bugingo