Paasita Moses Solomon Male myaka 57 avuddeyo ku nsonga za Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo okwewebuula n’okweswaza mu mawulire.

Pasita Bugingo ne Teddy balina obutakaanya era ensonga ziri mu kkooti okubatawulula.

Wabula sabiti eno, Teddy yawanjagidde minista w’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi ne sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okuyingira mu nsonga za, bba asasulire abaana fiizi.

Teddy ne Bugingo
Teddy ne Bugingo

Teddy agamba nti bba Bugingo yakubye abaana bwe baali bagenze okumusaba fiizi nga n’okutuusa kati batudde waka.

Agamba nti alina abaana abasoma basatu (3) nga beetaaga ssente za fiizi n’endala ezibayamba mu kusoma kyokka Bugingo yeeremye okubawa wadde 100.

Moses Solomon Male
Moses Solomon Male

Ku nsonga eyo, Pasita Male alabudde Teddy okuggya ensonga z’amaka mu mawulire kuba kibaswaza ate tekigenda kubayamba.

Pasita Male agamba nti, ” Kadaga talina musajja era Teddy okuddukira ewa Kadaga tekigenda kumuyamba kuba tategeera nsonga z’amaka ate Nakiwala naye alina ebizibu bye mu bufumbo bwe“.

Male agamba nti Bugingo ne Teddy balina okutuula ne bateese ku nsonga zaabwe kuba kkooti, amawulire tebiyamba wabula okubaswaza mu bantu.