Omuyimbi Eddy Kenzo afunye ku ssanyu, mukwano gwe bw’amuwadde amagezi okuwasa muyimbi munne Lydia Jazmine okudda mu bigere bya Rema Namakula.

Mu kiseera kino Kenzo ali bweru wa ggwanga era alina ebivvulu mu nsi ez’enjawulo ate Rema ali mu kweteekateeka okwanjula bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde nga 24, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Wabula omu ku mikwano gya Kenzo, Nabulya Hasytheo awadde Kenzo amagezi okuwasa Jazmine kuba muwala alabika bulungi, alina akasusu ate amanyi webakwata omusajja,”Wama gezako ku lydia jazmine kuba akasusu keko kasukali teyetaga kwongeramu kuba amanyi ne wakwata omusajja gezako bby Rema yatya da anti jazmine kyeyayagaliza embazzi“.

Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asinga ebyafaayo kuba ye muyimbi yekka alina Ward ya BET, awangudde award mpitirivu nnyo mu kisaawe ky’okuyimba mu Uganda ne bweru era singa awasa Jazmine, kigenda kuwa essanyu abamu ku bawagizi be.

