Mu Uganda, bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyavuddeko omuyimbi Rema Namakula okusuulawo muyimbi munne Eddy Kenzo ku lwa Dr Hamza Ssebunya omusawo.

Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki omusasi waffe, azzeemu okuwayaamu ne Ssenga Kawomera mukwano gwa Rema ate omukugu mu nsonga z’omukwano.

Ssenga Kawomera agamba nti, “abasajja balina okukimanya nti ffe abakyala emu ku nsonga lwaki tugenda mu bufumbo kutwagala era omusajja yenna alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kisenge okusobola okuwa omukyala essanyu lye yetaaga“.

Ssenga era agamba nti, “waliwo abasajja abalina ssente, ennyumba amatiribona, emmotoka ez’ebbeeyi nga bw’olaba Kenzo kyokka yalemwa okuwa Rema obudde ng’ali mu kunoonya ssente era bambi Rema kirabika abadde alina ennyonta ya laavu“.

Ku kya Rema okufuna omusajja omulala Dr Hamza, Ssenga Kawomera agamba nti omukyala yenna alina okunoonya omusajja alina waaya emutuuka obulungi mu nsonga z’omukwano era Rema kirabika yazudde omusajja omutuufu.

Ssenga awadde eky’okulabirako nti Eddy musajja alina award ya BET, alina ssente, amaka n’emmotoka ez’ebbeeyi wabula Rema yamusuddewo kuba abadde alemeddwa okumusanyusa mu by’omukwano.