Abantu 27 bebaakafa omuli n’abaana abato, oluvanyuma lw’omuliro okukwata ekisulo ky’abayizi ku ssomero mu kibuga Monrovia mu ggwanga erya Liberia.

Ku ssomero lya Koranic, ekimu ku kizimbe kikutte omuliro ng’abaana bebase era kiteeberezebwa abantu abafudde kuliko n’abakozi b’essomero.

Poliisi ekyanoonya emirambo ate abaana abafunye ebisago, batwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bali mu mbeera mbi.

Emmotoka za ambulensi ez’ekitongole ki Red Cross zirabiddwako nga zitwala emirambo gy’abaana mu malwaliro.

Pulezidenti w’eggwanga George Weah asaasidde abazadde bonna abafiiriddwako abantu babwe mu muliro era asuubiza nti Gavumenti erina okunoonyereza ekivuddeko omuliro ogwo.