Palamenti eragidde Ssaabaminisita w’eggwanga Uganda Dr. Ruhakana Rugunda okuvaayo annyonyole eggwanga ku bigenda mu maaso n’eyaliko Ssaabaduumizi wa Poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura.

Kino kiddiridde omubaka wa Buhweju Francis Mwijukye okuvaayo okusaba gavumenti okunyonyola eggwanga ku biriwo ku Gen. Kayihura oluvanyuma lw’okuteekebwako nnati.

Okusaba kwa Mwijukye, kuwaliriza Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okulagira Ssaabaminisita Rugunda okunnyonyola ku nsonga eno mu bwangu ddala era asuubirwa mu Palamenti sabiti ejja ku Lwokubiri nga 24, September, 2019.

Kinajjukirwa nti ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga 13, September, 2019, minisita w’ensonga z’ebweru mu Amerika, Michael R. Pompeo yayisizza ekiwandiiko ekirambika nnatti ze baatadde ku Gen. Kayihura ezizingiramu n’okubowa ebintu byonna by’anaasangibwa alina mu Amerika era ebiragiro bizingiramu n’okussa envumbo ku akawunti z’ayinza okuba ng’alina mu Amerika n’aba famire ye.

Gen. Kayihura avunaanibwa okwenyigira mu kulya enguzi, okutyoboola eddembe ly’omuntu n’emisango emirala.

Wabula Kayihura yagambye nti talina kintu kyonna mu Amerika.

Nnatti ku Gen. Kayihura yatwaliddemu ne mukyala we Angella Umurisa Gabuka, mutabani waabwe Kale Rudahigwa ne muwala waabwe Tesi Uwibambe.

Pompeo yagambye nti, okusalawo okuwera Kayihura n’aba famire ye okulinnya mu Amerka yakwesigamizza ku kunoonyereza kwe baakoze ne bamufunako obujulizi.

Kinajjukirwa nti Gen. Kayihura yakwatibwa nga June 13, okuva e Lyantonde n’asimbibwa mu kkooti e Makindye nga August 24, n’avunaanibwa emisango ebiri egy’okulagajjalira emmundu ssaako okuyamba mu kuwamba bannasi ba Rwanda abaali mu Uganda ne bazzibwayo e Rwanda ku buwaze.

Kkooti y’amagye g’ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti yayimbula Kayihura nga August 28, 2018 n’amulagira obutaddamu kufuluma Kampala ne Wakiso nga tafunye lukusa ssaako okweyanjulanga buli luvannyuma lwa wiiki bbiri eri omuwandiisi wa kkooti.