Sophia Namutebi abangi gwe bamanyi nga Maama Fiina awagidde ekya Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya.

Maama Fiina agamba nti Kenzo ne Rema bonna balina erinnya kyokka ensonga z’amaka zetagisa ebintu bingi nnyo omuli omusajja okulaga omukyala nti amwagala nnyo mu mbeera yonna.

Bwe yabadde mu kivvulu kya Catherine Kusasira sabiti ewedde ku Lwokutaano ku Serena mu Kampala, Maama Fiina yagambye nti Rema mukyala mulungi, ayimba bulungi, abadde alaba abasajja abasukka mu 1000, abamukwana bangi nnyo buli lunnaku kyokka Kenzo abadde amuzannyisa.

Maama Fiina era yagambye nti Rema afunye omusajja agenda okumuwa essanyu, lyabadde asubwa emyaka egiwera mu maka ga Kenzo.

Mungeri y’emu awadde Kenzo amagezi okunoonya omukyala nga si sereebu kuba Rema abadde amanyikiddwa mu Uganda yonna.