Omulamuzi wa kkooti enkulu Patricia Basaza aliko omusajja gw’asindise e Luzira, okusibwa okutuusa lwalifa lwa butemu.
Ibrahim Kaweesa amanyikiddwa nga Tetemwe yasindikiddwa e Luzira mu kkooti etudde mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omulamuzi Basaza agambye nti Kaweesa asingisiddwa omusango gw’okutta Annet Nakabugo eyali omutuuze mu disitulikiti y’e Wakiso.
Kaweesa era kigambibwa yenyigira mu kusobya n’okutta abakyala munaana (8) e Nansana mu 2017, abaasangibwanga nga batugiddwa, emirambo ne gisuulibwa mu nsiko n’okusonsekebwa ebiti mu bitundu by’ekyama.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 6, ogwomukaaga, 2017 ku kyalo Kiteredde mu Tawuni Kanso y’e Kakiri, Kaweesa ne banne abakyaliira ku nsiko, basobya ku Nakabugo oluvanyuma ne bamutuga ne bamutta.
Kaweesa abadde ku musango ne mukwano gwe Ronald Paul Kibirege wabula omulamuzi amwejjereza kuba oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi mu kkooti okumulumiriza.
Mu kkooti, Kaweesa yegaanye emisango gyonna kyokka omulamuzi agambye nti obujulizi obuleeteddwa, bulaga nti yeenyigira mu kutta abakyala, kwekumusindika e Luzira okusibwa okutuusa lwalifa.
Wabula munnamateeka we Godfrey Sserwanga agambye nti tamatidde n’ebigenze mu maaso mu kkooti era ssaawa yonna agenda kujjulira.
Ate omuwaabi wa Gavumenti Emily Ninsiima agambye nti sabiti ejja, Kaweesa wakudda mu kkooti y’emu ku misango gy’okutta omukyala omulala.