Kyaddaki omulamuzi wa kkooti enkulu e Gulu Stephen Mubiru ayimbudde omwana eyakwattibwa ku misango gy’okusobya ku mwana munne.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 13 omwezi oguwedde ogwomunaana, omwana omulenzi ng’amannya gasirikiddwa, yasobya ku mwana wa neyiba myaka 3 mu Monisipaali y’e Kitgum.

Amangu ddala omulenzi yakwattibwa era mu kkooti enkulu e Gulu, yagulwako omusango gw’okujjula ebitanajja, nasindikibwa mu kifo ekikuuma abaana abalina emisango e Gulu.

Olunnaku olwaleero, munnamateeka we Paul Mukiibi asabye omulamuzi omwana okweyimirirwa kuba mulwadde, alina okumira eddagala erikkakkanya akawuka akaleeta mukenenya.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patrick Omiya luwakanyizza eky’okuyimbula omwana kuba ayinza okudduka olwa bazadde be okuba nga bayawukana.

Ku nsonga eyo, omulamuzi agambye nti sseemateeka takirizza mwana muto kuwangalira mu kkomera ng’ali ku limanda.

Omulamuzi akirizza omwana okweyimirirwa era abazadde basabiddwa emitwalo 50 ezitali za buliwo ng’omwana balina okumuzza mu kkooti nga 4, November, 2019.