Bannakibiina kya NRM bali mu bikujjuko oluvanyuma lw’omuntu waabwe okuwangula eky’omubaka wa Palamenti omukyala e Hoima mu mu kalulu ak’ebyafaayo akakubiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.
Harriet Businge awangudde n’obululu 33,301 ate owa FDC Asanansi Nyakato afunye obululu 28,789.

Okusinzira kw’akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Hoima Douglas Matsiko, ku bululu 6,3780, obululu 1,690 bubadde bufu.
Mu mbeera y’emu ne disitulikiti y’e Kaabong, munna NRM Christine Tubo Nakwang awangudde Judith Nalibe owa FDC ku ky’omubaka omukyala ow’e Kaabong.
Okusinzira kw’akulira ebyokulonda mu disitulikiti y’e Kaabong Julius Ongom, Nakwang afunye obululu 22,532 ate Nalibe afunye obululu 1,692, ku bululu 26,189 obwakubiddwa.