Kyaddaki Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats naye avuddeyo ku kya Eddy Kenzo okwawukana ne Rema Namakula.

Mu kiseera kino Kenzo ali mu nsi z’ebweru anoonya ssente kyokka Rema alina mu ggwanga ateekateeka kwanjula bba DR. Hamza Ssebunga mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwa Masaka.

Rema asobodde okuyita abantu ab’enjawulo ku mukolo gwe omuli abagagga b’omu Kampala nga bakulembeddwamu Godfrey Kirumira, Hamis Kiggundu, Katikkiro Charles Peter Mayiga, abayimbi, bannakatemba, bannamawulire n’abantu abalala.

Abamu ku bannamawulire abaayitiddwa ku mukolo mwe muli MC Kats omukozi ku NBS TV era naye okwanjula akwesunga nnyo.

MC Kats agamba nti, “Kenzo mukwano gwange nnyo era tuvudde wala nnyo naye ne Rema mukwano gwange, Rema okwawukana ne Kenzo sikirungi naye nze mwana Rema yampise ku mukolo era nina okubaayo“.

Abamu ku bannayuganda babadde balowooza nti abamu ku mikwano gya Kenzo bagenda kwesamba omukolo gwa Rema kyokka bonna bagwesunga bya nsusso.