Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula ayogedde ne Eddie Kenzo ku ssimu, omulundi gwe ogusokedde ddala oluvanyuma lw’okwawukana naye.

Rema yafunye omusajja omulala Dr Hamza Ssebunya era nga 14, November, 2019, agenda kumwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Rema bwe yabadde ku kabaga, muwala wa Kenzo Maya Mirembe Musuuza ng’ajjaguza okuweza emyaka munaana (8), ku Speke Apartments mu Kampala yayogeddeko ne Kenzo ku WhatsApp video call oluvanyuma lwa Kenzo okukuba essimu okuva ebweru w’eggwanga n’ayogerako ne muwala we Maya.

Ng’omusajja omulala yenna alina omutima omulungi, Kenzo yagambye nti, “weebale kwagala mwana waffe Maya era genda mu maaso n’omutima ogwo omulungi kubanga Maya amanyi nti ggwe oli maama we.”.

Mungeri y’emu Kenzo yeebazizza abantu bonna abasobodde okugenda ku kabaga k’omwana we.