Kyaddaki omwogezi wa Gavumenti mu ggwanga Ofwono Opondo akyaliddeko eyali Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura mu makaage ku kyalo Kasagama mu disitulikiti y’e Lyantonde.

Okusinzira ku Ofwono, Gen Kayihura ali mu mbeera nungi ddala era ali ku mirimu gye egy’okulunda embuzzi.

Ofwono agamba nti Gen Kayihura alina embuzzi ezisukka mu 400 nga mwajja ssente ezimubeezaawo ne famire ye.

Gen Kayihura y’ani?

Amannya ge mu bujjuvu ye Edward Kalekezi Kayihura Muhwezi. Yazaalibwa December 26, 1955 e Kisoro okumpi n’ensalo ya Uganda ne Rwanda.

Kitaawe ye mugenzi John Komuluyange Kalekezi, omu ku bannayuganda abaalwanirira obwetaze bwa Uganda kyokka n’afiira mu kabenje k’ennyonnyi e Kiev mu Ukraine nga August 17, 1960.

Kitaawe yagenda okufa nga Kale Kayihura wa myaka etaano gyokka. Nnyina wa Kayihura ye Catherine Mukarwamo, mwannyina w’Omulamuzi (omugenzi) Joseph Mulenga Nyamihana eyafa mu 2012, ekitegeeza nti Mulenga yali kkojja wa Kayihura.

Kayihura yasomera mu Gasiza Primary School e Kisoro gye yava okudda mu Buhinga Primary School mu disitulikiti y’e Kabarole ne Mutolere Secondary School, gye yamalira S4 ng’abeera ne jjajja we Sofia Nyamihana.

Mu 1974, Kale Kayihura yeegatta ku St. Mary’s College Kisubi okusoma Haaya ng’eno gye yava okugenda e Makerere mu Yunivasite okusoma diguli mu mateeka. Yatikkirwa diguli mu mateeka mu 1978 n’agenda e Bungereza mu London School of Economics gye yatikkirwa diguli eyookubiri mu mateeka mu 1982 nga wa myaka 27 gyokka.

Olwava e Bungereza, Kayihura yayingira ensiko e Luweero mu lutalo lwa NRA olw’ekiyeekera mu 1983 n’ayamba mu kuwamba gavumenti mu 1986. Wakati wa 1983 ne 1986, Kayihura yali muyambi wa Gen. Salim Saleh.

Nga NRA ewambye obuyinza, Kayihura yali muyambi wa Maj. Gen Fred Gisa Rwigyema eyali omumyuka wa Minisita ow’Ebyokwerinda wakati wa 1986 okutuuka mu 1988.

Gen. Kayihura yaliko omulungamya w’ebyobufuzi mu NRA wakati wa 1988 ne 1990 era ekifo ekyo yakivaamu ng’alondeddwa okuduumira ekitongole ekirwanyisa okukukusa ebyamaguzi ekya Special Revenue Police Services.

Mu 2001, Pulezidenti Museveni yamusindika e Congo ng’eno amagye ga UPDF gye gaali gakubaganidde n’aga RPF aga Rwanda.

Kayihura atendekeddwa mu matendekero mangi mu by’ekijaasi mu mawanga ag’enjawulo okuli; China, Misiri, Amerika n’ensi endala.

Kayihura musajja mufumbo nga mukyala we ye Angella Kayihura enzaalwa y’e Kenya kyokka ng’alina emirandira e Rwanda. Balina abaana babiri bokka.

Kigambibwa, alina Faamu ggaggadde eri ku ttaka lya yiika nga 350 e Kashagama mu ssaza ly’e Kabula mu disitulikiti y’e Lyantonde ng’alina embuzi n’ente ebisukka mu 1500.

Mu kiseera kino Kayihura alina emisango mu kkooti y’amaggye e Makindye okuli okulemererwa okubalirira emmundu n’ebyokulwanyisa bwe yagabira abantu ab’enjawulo emmundu okuli ne ssentebe wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta, ebitongole okuli Flying Squard , Specialized Operations Unit, Witness Protection Unit n’ekya Crime Intelligence mu poliisi.

Mungeri y’emu avunaanibwa okuyambako mu kuwamba bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda nga babazza e Rwanda ewatali lukusa nga n’abamu ku bano battibwa ate abalala ne basibwa mayisa.

Omwezi oguwedde ogwa September, 2019, Gavumenti ya America yateeka nnatti ku Gen. Kayihura obutageza okulinnya ekigere mu ggwanga eryo n’eragira ebyobugagga bye ebiri mu Amerika bikwatibwe.

Ekiragiro ekyokuwera Kayihura okugenda mu Amerika n’ebyobugagga bye okukwatibwa kyayisiddwa ekitongole ekiyitwa ‘Offi ce of Foreign Assets Control (OFAC), ekyaweereza obubaka eri ebitongole byonna ebya Amerika omuli n’ekitebe kya Amerika mu Uganda okussa mu nkola ekiragiro ekyo.