Kyaddaki Pasita Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light the World e Nansana ayogedde amazima lwaki aluddewo okuwasa omukazi ku myaka gye 35.
Pasita Bugembe bwe yabadde mu katundu ka Pulogulamu ‘kukatebe’ ku NBS, yagambye nti waliwo omukyala ali mu ggwanga erya America (amannya gasirikiddwa) eyamumenya omutima.

Bugembe agamba nti mu bulamu bwe, wadde omukyala yali amwagala nnyo kyokka okulwawo nga tasalawo olw’okutya, y’emu ku nsonga lwaki omukyala eyali ku mutima gwe, yafuna omusajja omulala.

Ekiraga nti Pasita Bugembe yali mu laavu n’omukyala gwagaanye okwatuukiriza amannya, agambye nti yamutwala ku Serena okumusaba obufumbo kyokka omukyala yamumenya omutima, bwe yamutegeeza nti alina omusajja kuba ye (Bugembe) yalwawo okwatula.

Pasita Bugembe era agambye nti wadde emyaka gigenderedde, omukyala alemedde mu birowoozo bye kuba bwe yabadde ku k’amazaalibwa ge ag’emyaka 35, yamujjidde mu birowoozo.
Agamba nti alina omukyala omulala gw’alaba nti ye mutuufu naye alina okulinda omutima gwe okuwona obulungi, okwerabira omukyala gwe yali awadde omutima gwe kyokka natafuna mukisa.