Omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nnga SK Mbuga alambuludde lwaki y’omu ku bagagga aboogerwako mu Uganda.

SK Mbuga abadde mu kkomera mu ggwanga erya Sweden ku misango gy’okufera Omuzungu ayitibwa Sten Heinsoo enzaalwa ya Sweden obukadde 53 eza Sweden eziyitibwa Kronor (mu za Uganda zisukka obuwumbi 23) mu ddiiru y’okumuguza zaabu.

Omusango yaguwangudde era yakomyewo mu Uganda sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 28, September, 2019.

Mbuga mu kwogerako naffe, ayogedde amazima ku ngeri gyasobodde okufunamu ssente okwekulakulanya eve mu bwavu wadde waliwo bannayuganda abalowooza nti y’omu ku basajja abafere.

Mbuga agamba nti, “Nze ndi musajja mukozi, nina Apartments ez’enjawulo, nina business mu kibuga Dubai, nkozesa abakozi bangi nnyo, nze siri mufere era siyinza kwenyigira mu kufera, abagamba nti ndi mufere, ba mafia abaagala okutwala eby’obugagga byange n’okutatana erinnya lyange. Nze njagala nnyo eggwanga lyange Uganda kuba ntambula mu mawanga ag’enjawulo okunoonya ssente era zonna zenfuna nzireeta mu Uganda”.

Mbuga amaze ebbanga lya mwaka gumu n’emyezi mwenda ng’attunka mu musango gwo.
Bwe yabadde yaakatuuka mu makaage e Buziga, Mbuga yategeezezza nga bw’agenda okutandikira we yakoma omuli okumaliriza eddwaaliro lye ery’omulembe lye yatuuma Nu Shifah Hospital.
Mbuga yategeeza nti eddwaliro ligenda kumalawo obukadde bwa ddoola busatu n’ekitundu (obuwumbi obukunukiriza mu 12 mu za Uganda).