Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni ayongedde okumenya omutima gwa mukyala we Teddy Naluswa.

Mu kusaba mu kisaawe kye Namboole, ensonda ziraga nti Pasita Bugingo yayanjudde mukyala we omuggya Suzan Makula mu bazadde be.

Kigambibwa Bugingo yatutte Makula mu kisenge omwabadde bazadde be okuli nnyina Jane Bugingo ne kitaawe nga naye ye Aloysius Bugingo era mbu aba famire baayaniriza Makula mu famire wakati mu ssanyu.

Mu kusaba, Suzan obwedda ali wamu ne bannyina ba Bugingo era obwedda bazinira wamu n’okwekuba obwama.

Bazadde ba Bugingo babeera Rwanda kyokka Bugingo baamuzaalira Masaka gye baali babeera wabula baamuleka muto ne baddayo e Rwanda.

Taata wa Bugingo yayogeddeko eri abantu n’abategeeza nti Bugingo Munnayuganda bwoya kubanga baamuzaalira mu ddwaaliro e Masaka nga 28, July , 1970 era mu kiseera kino awezeza emyaka 49.

Bugingo alina abaana 4 ne Teddy mu myaka 29 kyokka mu kiseera kino ali mu kkooti ayagala bawukane kuba ye ssi musanyufu mu bufumbo era kigambibwa yesuunga kuwasa Suzan Magala.

Mu kiseera kino, ebigenda mu maaso biraga nti Bugingo mwetegefu nnyo okugenda mu maaso ne Makula kuba tewali kabonero konna akalaga nti asobola okuddamu okukolagana ne Teddy ku nsonga z’obufumbo.