Omuyimbi Alexander Bagonza amanyikiddwa nga A Pass alaze olukalala lw’abantu 10 abagwa mu kiti kya ‘Bu love Nigga Busemyekozo’.

Ku lunnaku Olwokusatu, Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwe yabadde awerekeddeko Dr. Hamza Ssebunya okukyala ewa Ssenga wa Rema Namakula e Naguru, yagambye nti Eddy Kenzo y’omu ku ‘Bulove Nigga Busemyekozo’ era y’emu ku nsonga lwaki Rema yamusuddewo.

Ku nsonga eyo, A Pass asobodde okuteeka olukalala lw’abantu 10 ku mukutu gwe ogwa Face Book okulaga abantu abagwa mu ‘Bu love Nigga Busemyekozo’.

Agamba nti olukalala waliwo abantu 10 abalumusindikidde ku ssimu ye kyokka avumiridde eky’okumuteeka ku namba 9 okuliraana Bebe Cool.