Omutunuulizi w’ensonga Joseph Tamale Mirundi avuddeyo ku nsonga z’omuyimbi Edirisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo okuteeka ku nninga Sheikh Nuhu Muzaata okumwetondera mu bwangu.

Kenzo agamba nti Sheikh Muzaata bwe yabadde ku mukolo gwa Dr. Hamza Ssebunya ng’akyadde ewa Ssenga wa Rema Namakula sabiti ewedde ku Lwokusatu e Naguru, yamulangidde nti y’omu ku ‘bu love niga ssemyekozo era agende awase nnyina mu maaso ga muwala we Aamal.

Kenzo agamba nti singa Sheikh Muzaata tamwetondera, tageenda kuddamu kuyimba ku siteegi yonna mu Uganda.
Wabula Mirundi agamba nti, “Kenzo ani abadde akwagala ennyo, Muzaata amegga njovu ate gwe akamyu, bwatayimba mu Uganda ani alumwa, alina okukiriza nti Rema tasobola kumuddira ne bw’asaddaaka enjiibwa ate Muzaata tasobola kumwetondera“.