Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ali mu maziga olwa Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya eyakyadde ewa Ssenga wa Rema sabiti ewedde ku Lwokusatu e Naguru.
Kenzo agamba nti Rema okugenda bakyogerako ne bakaanya kuba baali balemeddwa okukwatagana mu nsonga z’omukwano wadde baali balina omwana.

Bwe yabadde ayogerako eri ensi olunnaku olw’eggulo ku ‘Face Book Live’, Kenzo yagambye nti, “twateesa naye ne tugamba kino kigaanye tukite mu bulungi, ebbanga lyonna lye yabeera e Seguku nagendangayo okubalabako nga ne bwemba ntulavolinze bwemba ngulidde abaana ekintu naye muteerako mu kkeesi ne muleetera wadde nga wetutyo bwe twateesa, naye ekintu kye bayita Process, process eruma notunula munno gy’alaze, tomanyi gy’agenze kubeera, tomanyi ani gw’agenze kubeera naye, tomanyi banamuyisa batya, agenze n’omwana wo, tomanyi anabeera atya“.
Ebigambo bya Kenzo biraga nti Rema okugenda n’omwana we Aamal mu bufumbo bwa Dr. Ssebunya, ng’omusajja omulala yenna, kyamukoze bubi nnyo.
Eddoboozi lya Kenzo