Bannayuganda bakubaganye empawa ku kya Eddy Kenzo okugamba nti Sheikh Nuhu Muzaata yamulangidde okulya ebisiyaga mu ggwanga erya America.
Olunnaku olw’eggulo, Kenzo bwe yabadde ku ‘Face Book Live’ yagambye nti Muzaata alina okumwetondera mu lwatu oba okuleeta obujjulizi obulaga alya ebisiyaga.
Kenzo yakoowodde abakulembeze mu ggwanga n’okusingira ddala abakulu mu ddini y’Obusiraamu okuyingira mu nsonga ze kuba ebigambo bya Muzaata biwebuula ekitiibwa kye.
Wabula sabiti ewedde, Muzaata bwe yali ayogera ku nsonga y’ebisiyaga yawa eky’okulabirako nti abavubuka bangi nnyo ennaku zino begumbulidde omuze gw’okwambala ppini mu matu ne nekireesi mu bulago ate mu ggwanga erya America bubonero obulaga abali bebisiyaga.
Ku nsonga eyo, abamu ku bannaKampala bagamba nti ebigambo bya Muzaata temuli linnya lya Kenzo era bewunya lwaki mu Uganda yonna, Kenzo agamba nti Muzaata yabadde ayogera ku ye.
Abantu bagamba nti Kenzo alina okukimanya nti mu Uganda, mulimu abantu bangi nnyo abateeka ppini mu matu ne nekireesi mu bulago era Muzaata yabadde ayogerera wamu wabula tanaba kugamba nti Kenzo muli wa bisiyaga.
Eddoboozi lya Muzaata