Oluvanyuma lwa Rema Namakula okusuulawo Eddy Kenzo, abamu ku bawagizi ba Kenzo bagamba nti omuyimbi Lydia Jazmine alina ebisanyizo byonna okudda mu bigere bya Rema.
Bagamba nti Jazmine ayimba bulungi, alabika bulungi ate muwala mulungi nga Rema era singa Kenzo anoonya omukyala omutuufu, Jazmine ali ku kituufu.

Mu mbeera eyo, tukuletedde ebimu ku bifaananyi nga Jazmine alaze omutima gw’ebbere n’okulaga ensi nti Katonda yamuwa omubiri omulungi.