Kyaddaki Dr. Hamza Ssebunya avuddemu omwasi ku nsonga z’omwana Aamal, muwala w’omuyimbi Eddy Kenzo, ayagenze ne Rema Namakula mu bufumbo.
Okuva sabiti ewedde, bannayuganda abamu bazze bavumirira ekya Rema okusembeza omwana Aamal mu kiseera nga bba Dr. Ssebunya akyadde ewa ssengaawe e Nagguru sabiti ewedde ku Lwokusatu.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Kenzo bwe yabadde ku ‘Face Book Live’ yagambye nti alumwa olwa Rema okugenda n’omuntu omulala gwatamanyi ng’ali n’omwana we Aamal era y’emu ku nsonga lwaki ali mu maziga.
Wabula ku mukutu ogwa Face Book, Dr Dr. Hamza Ssebunya atabukidde bannayuganda bonna abalemeddeko okuyingiza omwana mu nsonga zaabwe (ye n’omukyala).
Dr. Ssebunya asabye abantu okwesonyiwa omwana kuba akyali muto era talina kyamanyi ku bigenda mu maaso mu kiseera kino, “I see people talking a lot about us’ I mean me and her…. Please take her out of ur trash… Omwana mumujje mubino. She is a sweet lovely innocent soul. Plz pliz……“.
Wadde ebigambo biwandikiddwa era obubaka butuuse bulungi ku bannayuganda, tekimanyiddwa oba Dr. Hamza Ssebunya ku mukutu ogwa Face Book ye bba wa Rema oba muntu mulala akozesa amannya ge.
