Kyaddaki Omuyimbi Edrisah Musuuza amanyikiddwa ng’omuyimbi Eddy Kenzo ayogedde amazima nti yali agenda kwetta olw’ebigambo bya Sheikh Nuhu Muzaata.

Eddy Kenzo agamba nti ebigambo bya Muzaata ku mukolo nga Dr. Hamza Ssebunya akyadde ewa ssenga wa Rema Namakula byamusanga ku kisaawe ky’ennyonyi ng’agenda mu ggwanga erya Colombia.

Kenzo agamba nti singa yalaba vidiyo ya Muzaata nga tali ku kisaawe, yali asobola bulungi nnyo okwetta.

Kenzo agamba nti okulowooza nti ensi yamukyawa olw’ebigambo by’abantu omuli ne Sheikh Muzaata y’emu ku nsonga lwaki yafuna ekirowoozo okwetta.
Mungeri y’emu alangiridde Kampeyini empya Kirungi okwetonda, “#itsgoodtoapologize” okuwa akadde Sheikh Muzaata okulowooza ku nsobi ze n’ebigambo bye, oluvanyuma asobole okwetonda.

Kenzo agamba nti yafunye okuwabula, ensonga ya Muzaata okugikwata empola kuba musajja mukulu mu ddini y’Obusiraamu, alina okuweebwa ekitiibwa.
Muzaata okugamba nti abantu abateeka ppini mu matu mu ggwanga erya America abasinga balya ebisiyaga n’okulagira Kenzo okuwasa nnyina kati omugenzi zezimu ku nsonga lwaki Kenzo ayagala okumwetondera.
Kenzo agamba nti mu Uganda, y’omu ku bayimbi abasajja abateeka Ppini mu matu ate ebigambo bya Muzaata byamusanga mu America ekiraga nti yali ayogera ku ye.