Ritah Kaggwa, nkubakyeyo abeera e Bungereza atabukidde Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda ku nsonga za Rema Namakula okwawukana ne bba Eddy Kenzo.

Oluvanyuma lwa Kenzo ne Rema okwawukana, abantu bangi boogedde ku bufumbo bwabwe omuli ne Gashumba.

Wabula Ritah Kaggwa agamba nti Gashumba talina buyinza kwogera ku nsonga za Rema ne Kenzo kuba ye obufumbo bwamulema wadde okulambika abaana era y’emu ku nsonga lwaki muwala we Sheilah Gashumba azunga buzunzi.

Kaggwa era agamba nti Gashumba ategeera kimu kwemazisa kuba talina mukyala yenna era mu Uganda ye Pulezidenti w’abantu bonna abeekuba akasabuuni.

Mungeri y’emu agambye nti Gashumba alina okwesonyiwa ensonga z’obufumbo kuba ye bwamulema.

Okusinzira ku bakugu mu nsonga z’omukwano, singa omanyiira okwemazisa buli kiseera osobola obutayagala kwegatta na mukyala ng’otusizza okuwasa. Omuntu eyamanyiira okwemazisa, oluusi aba tatwala mukazi ng’ekikulu anti aba asobola okwematiza n’okutuuka amangu ku ntikko.

Mpozzi ebizibu ebiyinza okujja bya kukozesa ssabuuni anti asobola okulwaza obusajja bwo oba okuleeta amabwa n’endwadde z’olususu endala.

Amaanyi g’ekisajja tegakendeera wabula singa weemazisa ate ku lunaku olwo ne weegatta, obwagazi buba butono oba toba na maddu ge. Kale kiba kizibu okumatiza munno nga muli mu kaboozi anti oba mukkufu.