Omuyimbi Edrisah Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo abikudde ebyama, ayogedde engeri gye yasaba Rema Namakula omukwano.

Kenzo agamba nti, “tewali amanyi Rema kusinga nze abadde naye emyaka etaano (5) era abadde mukwano gwange nnyo“.

Bw’abuuziddwa mu ngeri gye yafunamu Rema, Kenzo agambye nti, “Rema yali mukwano gwange nnyo ng’alabika bulungi, muwala mulungi era nze yamukolera oluyimba ‘Fire Tonight’, wabula twaali tugenze naye ku Music Tour mu Western Uganda okumala sabiti 3, ebintu byatandikirawo“.

Mungeri y’emu agambye nti, Rema okufuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya takirinaako buzibu kuba yafunye omusajja alina ebisanyizo bye okumuwa essannyu.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Kenzo bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Méstil Hotel e Nsambya, yagambye nti mwetegefu okugenda ku mukolo gwa Rema ogw’okwanjula bba Dr. Ssebunya nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka singa aba ayitiddwa mu mutima omulungi.