Omukyala Zari Hassan alaze lwaki mu Uganda ne Africa y’omu ku bakyala abalina emikisa wadde talina bufumbo butebenkedde.
Zari alina amaka e South Africa ag’omulembe era y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bakyala mu Africa bamwegomba kuba ali mu mbeera nungi.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima Kampuni ya Splash Coatings Africa kuba esobodde okuddabiriza amakaage n’okukyusa endabika.
Mu kiseera kino amaka ga Zari gatemya nga muntu era agamba asiimye aba Splash okumulaga omukwano mu mbeera yonna.
