Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga lwaki bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) baganiddwa okuba olukungana mu kisaawe e Namboole ssaako n’okukwata eyali Pulezidenti w’ekibiina ekyo Dr. Kizza Besigye.

FDC yabadde etegese olukungana, okusisinkana abakulembeze baabwe mu Buganda kyokka Poliisi ebayimiriza ku ssaawa envanyuma.

Dr Kizza Besigye akubiddwa ‘tear Gas’ e Kireka era emmotoka nga naye atudde munda, esikiddwa netwalibwa ku Poliisi e Naggalama.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Dr. Besigye ali mu kaduukulu kaabwe e Naggalama kyokka mu kiseera kino tanaggulwako musango gwonna.

Onyango era agambye nti Besigye okupakinga mu kkubo okulemesa emmotoka okutambula n’okugyemera ebiragiro bya Poliisi, y’emu ku nsonga lwaki akubiddwa ‘Tear Gas’, emmotoka ye okugisika n’okwattibwa.