Omuyimbi Jennifer Nakanguubi amanyikiddwa nga Full Figure alaze lwaki Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ye musajja yekka agwanidde okulembera eggwanga lino Uganda.
Full Figure agamba nti, “nze ‘special mobilizer ‘era nze mukunzi omukulu ow’abayimbi mu Uganda yonna. Catherine Kusasira ne banne, abo bali wansi wange“.
Agamba nti, “Museveni yampadde obuvunaanyizibwa okukola ku nsonga za bannamwandu, abawala abato, abayimbi ssaako n’abategesi b’ebivvulu bonna balina kuggya mu offiisi yange“.
Mungeri y’emu agambye nti Museveni musajja ayegeera ensonga z’abantu era ayagaliza bannayuganda bonna okubeera obulungi nga y’emu ku nsonga lwaki yafunye abantu abatuufu okutuukirira abantu bawaansi (civilians).
Full Figure era agamba nti abantu bonna banoonya mbeera nungi era 2021 abalonzi tebalina kulimbibwa, balina kulonda Museveni okusobola okufuna obulamu obulungi
“Nze Museveni mwagala nnyo kuba musajja akulembera abantu bonna wadde ba People Power ate yakulembera People Power kuba yalondebwa bantu“, Full Figure ku nsonga lwaki yavudde mu kisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Full Figure yafuna nnyo amaanyi olw’okwambalira buli eyali alumba Bobi Wine. Kyokka Bobi Wine bwe yalonda abakulembeze be mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okunga bantu, Full Figure teyamuwa kifo kyokka y’emu ku nsonga lwaki yavudde mu People Power era sabiti ewedde ku Lwokuna, yasobodde okusisinkana Pulezidenti Museveni.