Omuyimbi Bebe Cool abikudde bannayuganda amaaso bw’awadde ensonga lwaki ekibiina kya ‘Fire Base’ kyatandikibwawo.

Bebe Cool agamba nti yali omu ku bantu abatandikawo Fire Base mu Ghetto e Kamwokya era y’emu ku nsonga lwaki Bobi Wine amutegeera bulungi nnyo.

Agamba nti obutakaanya wakati wa Bobi Wine ne Dr. Jose Chameleone nga bakatandika okuyimba, mu mbeera eyo, “nze Bebe Cool nayambako Bobi Wine okutandikawo ebibiina kya Fire Base okusobola okulwanyisa Chameleone mu kuyimba“.

Bebe Cool agamba nti tewali muntu yenna asobola kumulemesa kwogera ku nsonga za Bobi Wine kuba amutegeera bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna.
Agamba nti asobodde okutwala abayimbi bangi mu kibiina kya Fire Base omuli Buchaman, n’abayimbi abalala kuba alina omukono mu kutandikawo Fire Base mu Ghetto ze Kamwokya.